Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함
Ministry of Education, Health _ Buganda
133 posts

Ministry of Education, Health _ Buganda
@Educ_Health_Bug
Minisitule y'Enkulakulana y'Abantu (Ebyobulamu, Ebyenjigiriza, n'Ensonga za Woofiisi ya Nnaabagereka) @BugandaOfficial
Bulange, Mengo 가입일 Temmuz 2023
28 팔로잉125 팔로워
Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함

Tutuuse mirembe okuva e Dubai mu UAE gye tubadde ku bugenyi obw'ennaku 5, twagguddewo Ttabamiruka wa Buganda Bumu mu Buwalabu, tusobodde okulambula ebifo eby'enjawulo n'okusisinkana abakulembeze ab'enkizo mu Nsi eyo era tusuubira ebibala bingi
Byonna byatambudde bulungi, kyokka twasanze embeera ya bannaffe naddala abaana abawala abayisibwa mu mbeera ennyigiriza obulamu bwabwe omuli n'abakozesebwa obwamalaaya!
Ebikolwa bino tubivumirira era nsabye Omubaka wa Kabaka mu Nsi eyo okulondoola embeera eno n'abakulembeze abalala abavunanyizibwa wabeewo ekikolebwa okukomya ebikolwa nga bino.
Ffenna tusaana okubeera mu Nsi eno nga tugyeyagaliramu awatali kunyigirizibwa.


Indonesia
Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함

Ekisaakaate International Schools 2025 kikomerezeddwa, Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabidde abaana b'Eggwanga okwagala obuwangwa n'ennimi zaabwe enzaaliranwa. Akubirizza abazadde bulijjo okubaako bye bayigiriza abaana baabwe nga bagatta kw'ebyo bye bajja mu masomero oba mu nteekateeka endala nga Ekisaakaate.
Nnaabagereka ategeezezza nti Ekisaakaate ky'amasomero agali ku nsomesa y'omutendera gw'Ensi yonna kigenda kubeerangawo buli mwezi gwa musanvu era asabye abazadde okwongera okuwaayo abaana okukyetabamu bayige ebintu eby'enjawulo.
#Ekisaakaate2025




Filipino
Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함

Ekisaakaate International Schools kitandise olunaku lwa leero nga kino kitegekeddwa ku Kabojja International School e Buziga.
Ekisaakaate kino ky'ekyamasomero agagoberera ensoma y'omutendera gw'Ensi yonna. Kino kye ky'omulundi ogw'okuna (4) era kya kutambulira ku mulamwa "Okukwanaganya Obuwangwa ne Tekinologiya". Kyakutambula okuva leero nga 3 okutuuka nga 12 Kasambula.
Omumyuka w'Omukubiriza w'Olukiiko Owek. Ahmed Omutandisi w'essomero lino ategezezza nti ekisaakaate kino mu baana abali mu 'International Schools' kya nkizo nnyo kubanga abantu bangi balowooza nti eno basomesaayo bya kizungu byokka, naye kati omukisa guzze okwongera okulaga nti abaana bano nabo bagunjulwa mu nnyingo z'obuntubulamu, obuwangwa n'ennono zaabwe.
Ssaabagunjuzi w'Ekisaakaate, Owek. Rashid Lukwago mu kwaniriza Abasaakaate bano bagenda kuyigirizibwa ebintu bingi eby'enjawulo omuli empisa, ebyemikono, n'ebirala ate okuddira ddala ku mulamwa, bayigirizibwe butya bwe bakozesa tekinologiya okumanya n'okutumbula obuwangwa bwabwe.
#EkisaakaateInternationalSchools2025




Indonesia
Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함

Nnaabagereka Sylvia Nagginda akyaddeko mu ddwaliro e Butabika era n'abadduukirira n'ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo.
Mu kaweefube w'okulwanyisa endwadde z'emitwe Nnaabagereka gw'aliko, ategeezeza nti alambudde eddwaaliro lino okwongera okuwuliriza, okuyiga ate n'okuyimirira awamu naabo abeewaayo okujjanjaba abalina obukosefu obw'enjawulo ku bwongo.
Nnaabagereka yebazizza nnyo abasawo wamu n'abakulira eddwaaliro ly'e Butabika olw'omulimu gwe bakola mu kujjanjaba endwadde z'emitwe era agamba nti n'ekitongole kye wano wekitadde amaanyi kubanga abantu bangi abakosebwa endwadde z'emitwe naddala okuva ekirwadde ki lumiimamawuggwe lwe kyalumba Ensi.
Ab'Eddwaliro ly'e Butabika nabo bawadde Nnaabagereka engule emusiima olw'amaanyi g'atadde mu kaweefube w'okulwanyisa endwadde z'emitwe
Kaweefube w'okuyamba ku balina endwadde z'emitwe Nnaabagereka yamutandikako omwaka oguwedde n'ekyeggulo ekyatuumibwa 'Queen's Ball' ekisonderwako ensimbi okudduukirira abalina obuzibu buno. N'omwaka guno, ekyeggulo kino kyakubaawo nga 2/05/2025 e Munyonyo ku Sunset Terrace.
#QueensBall2025




Indonesia
Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함

Kulika Kulika Ayi Mpologoma ya Buganda okutuuka ku lunaku luno olw'ekkula ery'emyaka 70. Katonda Yeebale🙏
Yuguuma Yuguuma Ayi Ssaabasajja Kabaka!
#KabakaMutebiAt70

Indonesia
Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함

Ssaabasajja Kabaka yasiimye mu kujaguza amazaalibwa ge, abantu be baweebwe obujjanjabi ku bulwadde bw'amaaso, bakerebwe, baweebwe eddagala ne galuubindi ku bwerere.
Enteekateeka eno eri Busimbi mu Ssingo ewagenda n'okuggulibwawo ekizimbe ky'eddwaaliro ly'Obwakabaka olunaku lw'enkya.
Obwakabaka bukolaganye n'eddwaliro lya @mengo_hospital okutuukiriza okusiima kwa Nnyinimu kuno okw'ennaku 2, leero n'enkya.
#KabakaMutebiAt70



Indonesia
Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함

Ani Avunanyizibwa Okuzza Empisa mu Baana?
Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika akubiriza abazadde okukulemberamu olutalo ly'okuzza empisa mu baana. Agamba nti Eggwanga erigumidde litandikira ku maka kubanga y'ensibuko y'empisa ez'obugunjufu n'obuntulamu.
Obubaka buno, Owek. Bwanika abuweeredde ku ssomero Stena Hill Secondary School e Lukuli, Nanganda abayizi gyeboolesereza talanta zaabwe wansi, "Obuwangwa bwaffe, bwe busika bwaffe."
Ebisingawo 👇
gambuuze.ug/owek-bwanika-a…




Indonesia
Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함
Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함
Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함

Obwakabaka bukuzizza olunaku lw'okusoma ebitabo n'ebiwandiiko, omukolo gutegekeddwa ku Set Light Schools e Entebbe.
Minisita w'Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko y'akulembeddemu enteekateeka era mu kwogera kwe ategeezeza nti okusoma ebitabo oba ebiwandiiko kya muwendo nnyo ekisaana okusoosowazibwa n'okunnyikiza mu baana bakule nga bamanyi okusoma ate nga ne bye basoma babitegeera so si kutuusa kusoma kutuusa mukolo oba kuyita bibuuzo.




Indonesia

Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함

Minisita w'Abavubuka, Emizannyo n'Ebitone Owek. @Robert_Serwanga Ssaalongo akedde Kyaggwe okutongoza obukulembeze bw'Abavubuka mu miruka wamu n'okuggulawo empaka z'Omupiira gw'Eggombolola 2025.
Minisita ayaniriziddwa Omumyuka Asooka owa Ssekiboobo Owek. Moses Ssenyonjo ku mbuga y'Essaza Kyaggwe.




Indonesia
Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함

Twebaza abazadde abaleeta abaana mu Kisaakaate era tubakubiriza temukiriza baana kuwambibwa tekinologiya kubanga bajja kuboononekako!
Tekinologiya awambye buli kimu kyokka tetulina kumukkiriza kunafuya buwangwa bwaffe wabula tumweyambise okubuganjisa nga tuteeka ebikwata ku buwangwa bwaffe ku mitimbagano abantu babisangeyo.
Twebaza Nnaabagereka ne bonna abamuyambako okuggusa omulimu gw'Ekisaakaate.




Filipino
Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함

Ekisaakaate 2025 kigaddwawo: Katikkiro @cpmayiga akubirizza abantu okweyambisa tekinologiya okutumbula obuwangwa kyokka era asabye abazadde obutaleka baana kumala biseera bingi ku masimu
Nnaabagereka Sylvia Nagginda alabudde abazadde n'abaana ku nsonga y'ebiragalalagala
Ebisingawo 👇#Gambuuze
gambuuze.ug/ekisaakaate-20…



Filipino
Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함
Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함

Education is as vital as food, and children should value their parents' efforts by taking school seriously.
While engaging with students from Kabojja International School, I shared the history of the Buganda Kingdom to help them understand their roots and appreciate cultural values.
Teaching the younger generation about Uganda’s diverse cultures is essential for building a united nation.




English
Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함

Katikkiro Charles Peter Mayiga agamba nti kirungi abaana abato bayigirizibwe ebyafaayo n'ennono z'abantu ab'enjawulo abasangibwa mu Uganda.
Bino abyogedde asisinkanye abayizi okuva ku Kabojja International School abazze Embuga okuyiga ebifa ku Bwakabaka bwa Buganda.
Katikkiro @cpmayiga agamba nti Uganda erimu abantu ba bika bingi, nga bonna balina ebirungi ebisobola okubayigirwako, Omuganda n'ayiga eby'omuteeso, Omusoga n'ayiga eby'Omutooro n'abalala bwe batyo. Kino bwekinaakolebwa wajja kubaawo okukwatagana okwannamaddala, olwo Uganda eyongere okukulaakulana mu bitundu byayo byonna.
Kamalabyonna akubirizza abasomesa n'abazadde okuwa abaana omukisa okuyiga obuwangwa obw'enjawulo mu Uganda kibayambe bbo bennyini n'Eggwanga okutwaliza awamu.
#Buganda2025




Indonesia
Ministry of Education, Health _ Buganda 리트윗함

Minisita avunanyizibwa ku woofiisi ya Nnaabagereka Owek. Choltilda Nakate Kikomeko atuuse era ayanirizza Abasaakaate
Yebazizza abazadde abaleese abaana mu bungi, n'asuubiza nti abaana bagenda kuyiga ebintu bingi, naddala Obuntubulamu, Obuwangwa ne Tekinologiya
#Ekisaakaate2025



Indonesia











