




Kyembe Karim
1.2K posts

@KyembeK
Passionate about Justice and the Rule of Law.






Olwa leero giweze emyaka 13 bukya Beene anzija ku maviivi...! Mu bbanga eryo mubaddemu ebintu bingi, nga bino: 1. Okukyusa endaba y'ebintu, abantu okumanya nti waliwo bye tusobola okwekolera (Ettoffaali lyavaamu obuwumbi 10, naye ekigendererwa kyali ku "mindset change"). 2. Okutereeza enzirukanya y'emirimu mu Bulange ne mu bitongole (effective systems of administration). 3. Okumaliriza Amasiro g'e Kasubi ne bbugwe. 4. Okuzimba Masengere. 5. Okutandika BBS Terefayina eyaffe. 6. Okusikiriza bannamikago ab'omuzinzi (waliwo abazimba amayumba e Kigo, Ssentema; Airtel, Centenary n'abala bangi batuwagira nnyo). 7. Okussa omulaka ku byobulamu (Kabaka y'emunyenye y'okulwanyisa mukenenya). 8. Okukunga Obuganda (emisinde gy'amazaalibwa gye gisinga obunene mu Afirika; Omupiira gw'Amasaza gwe gusinga okulabwa mu East Africa). 9. Okuwagira bannabitone (abayimbi; abakubi b'ebivuga; abawandiisi b'ennyimba; abazinyi). 10. Okussa omulaka ku byenjigiriza (Ensawo ya Kabaka ey'Ebyenjiriza eweeredde mitwalo na mitwalo); amasomero, okuva ku nursery, primary; secondary; tertiary; ne university gonna weegali. 11. Oluwalo (omwaka oguwedde abantu ba Buganda baaleeta kumpi obuwumbi 2 - mu kyeyagalire, emirimu gy'Omutanda gisobole okutambula. 12. Okulwanyisa obwavu: Emmwanyi Terimba.. enteekateeka ejje abantu mu bwavu; obwegassi (PEWOSA ne SACCO endala ziyamba bangi). 13. Okutumbula Obuwangwa n'ennono (Kabaka y'omu ku bakulembeze b'ensikirano abasinga ettutumu mu Afirika; Ebika bivuga; Oluganda kati luli ne ku Google). Nkomye ku ebyo 13 (anti n'emyaka giri 13 😊)...naye bingi okusingawo. Nneebaza Nnyinimu okunneesiga 🙏🏾 ebbanga lino lyonna. Nneebaza bonna benkoze nabo ebbanga lino. Nneebaza Obuganda n'emikwano gyaffe. Obuwagizi n'essaala bye bituwanirira bulijjo. Wangaala Ayi Cuucu! CPM







The CEO of SC Villa (JOGOO), William Nkemba, handing me the special edition of the club magazine covering the period 2021-2026. The magazine is soon becoming a periodic publication of the club. I thank the club president, Owek. Omar Ahmed Mandela and the Executive Team, who have embarked on a re-organization programme of the operations of our club. Best regards and wishes! CPM. @SCVillaJogoo



















